Isaiah 37:14-20

Okusaba kwa Keezeekiya

14Keezeekiya n’aggya ebbaluwa mu mukono gw’ababaka n’agisoma: Keezeekiya n’ayambuka mu nnyumba ya Mukama n’agyanjuluza mu maaso ga Mukama. 15N’asaba ne yeegayirira Mukama nga agamba nti, 16 a“Ayi Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, atuula wakati mu bakerubbi, ggwe Katonda wekka afuga obwakabaka bwonna obw’omu nsi, ggwe wakola eggulu n’ensi. 17 bOtege okutu kwo Ayi Mukama owulire, ozibule amaaso go, Ayi Mukama, olabe: owulire ebigambo byonna ebya Sennakeribu by’aweerezza okuvuma Katonda omulamu.

18 c“Mazima ddala Mukama, bakabaka b’e Bwasuli baazisa amawanga gonna n’ensi zaago, 19 dne basuula bakatonda baabwe mu muliro: kubanga tebaali bakatonda, naye mulimu gwa ngalo z’abantu, miti na mayinja; kyebaava babazikiriza. 20 eKale nno, ayi Mukama Katonda waffe, tulokole mu mukono gwa Sennakeribu, obwakabaka bwonna obw’ensi butegeere nga ggwe wekka ggwe Mukama.”

Copyright information for LugEEEE